Isaiah 41:11-16

Isirayiri Alinnya ku Balabe be

11 a“Laba, abo bonna abakukambuwalidde
balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku.
Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa
ne baggwaawo.
12 bOlibanoonya abo abaakukijjanyanga
naye n’otobalaba.
Abo abaakulwanyisanga
baliggwaamu ensa.
13 cKubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
14Wadde ng’oli lusiriŋŋanyi
totya, ggwe Isirayiri,
kubanga nnaakuyamba,” bw’ayogera Mukama Omununuzi wo,
Omutukuvu wa Isirayiri.
15 d“Laba ndikufuula ng’ekyuma ekiggya ekisala ennyo,
ekyogi eky’amannyo amangi.
Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala,
obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16 eOliziwewa empewo n’ezifuumula,
embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye.
Era naawe olisanyukira mu Mukama,
era mu Mutukuvu wa Isirayiri mw’olyenyumiririza.”
Copyright information for LugEEEE